Job 19

Yobu Amuddamu

1Awo Yobu n’addamu nti:

2“Mulikomya ddi okunnyigiriza
ne mummenya n’ebigambo?
3Emirundi kkumi nga munvuma;
temukwatiddwa nsonyi kunnumba.
4 aBwe kiba nga kituufu nti nawaba,
obukyamu bwange, bwange nzekka.
5 bBwe muba munneegulumiririzaako
ne mukozesa obulumi bwange okunfeebya,
6 cmumanye nga Katonda ankoze bubi
era anzingizza mu kitimba kye.

7 d“Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu;
ne bwe nkuba enduulu, tewali antaasa.
8 eAzibye ekkubo lyange sisobola kuyita;
amakubo gange agalese mu kizikiza.
9 fAnziggyeeko ekitiibwa kyange
n’anziggyako n’engule ku mutwe gwange.
10 gAnjuzaayuza ku buli ludda okutuusa lwe watasigalawo kantu,
asigula essuubi lyange ng’omuti.
11 hObusungu bwe bumbubuukirako;
ambala ng’omu ku balabe be.
12 iAmaggye ge galumba n’amaanyi;
ganzimbako enkomera
ne gagumba okwetooloola weema yange.

13 j“Anziggyeeko baganda bange;
abo bwe twali tumanyiganye banviiriddeko ddala.
14Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala,
mikwano gyange ginneerabidde.
15Abagenyi bange n’abaweereza bange abawala, bampisa nga gwe batamanyi,
ne bandaba nga munnagwanga.
16Mpita omuddu wange naye tawulira,
wadde nga mwegayirira n’akamwa kange.
17Omukka gwange gwe nzisa, guwunyira bubi mukyala wange;
nakyayibwa baganda bange bennyini.
18 kN’obulenzi obuto bunsekerera;
buli lwe bundaba bunvuma.
19 lMikwano gyange gyonna enfirabulago gya nkyawa;
abo be nnayagalanga banneefuukira.
20 mSiriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba:
nsigazzaawo bibuno byokka.

21“Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa,
kubanga omukono gwa Katonda gunkubye.
22 nLwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga?
Omubiri gwe mufunye tegumala?

23 o“Singa nno ebigambo byange byawandiikibwa,
Singa byawandiikibwa ku muzingo, bandiguwadde ani?
24Singa byawandiikibwa n’ekyuma ku lubaati,
oba okuwandiikibwa ku lwazi ne bibeerawo emirembe n’emirembe!
25 pMmanyi nga Omununuzi wange mulamu,
era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi.
26 qEra ng’olususu lwange bwe luweddewo,
kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;
27 rnze mwene ndimulaba,
n’amaaso gange, Nze, so si mulala.
Emmeeme yange ng’eyaayaana munda mu nze!

28“Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya,
kubanga ensibuko y’emitawaana eri mu ye;’
29 snammwe bennyini musaana mutye ekitala.
Kubanga obusungu buleeta okubonereza okw’ekitala,
olwo mulyoke mumanye ng’eriyo okusalirwa omusango.”
Copyright information for LugEEEE